Ababaka balabudde ku ky’akalulu k’ekikungo

Ababaka mu Palamenti  abatawagira kya kwongezaayo myaka gya kisanja kya Pulezidenti balabudde abakiise ku nkiiko za zi Disitulikiti  mu ggwanga okwewala okwekkiriranya ku nsonga y'akalulu k'ekikungo Gavumenti keetegeka .

Mbwatekamwa Gaffa Louis omubaka wa Kasambya  mu Palamenti  ategeezezza nti bagudde mu lukwe lwa Gavumenti  olw'okuyisa akalulu k'ekikungo (referendum) mu nkiiko za Disitulikiti  oluvannyuma lw'okukizuula nti aka bonna tebaggya kukawangula.

Mbwatekamwa wano w'asinzidde n'alabula abakiise bonna ku nkiiko za Disitulikiti obutakemebwa kusuula Yuganda mu ntata, olw'obusente obugenda okubaweebwa. 
 

Leave a Reply