Ababaka Bannakibiina kya FDC mudde mu Palamenti muve ku bya Mpuuga – Nsibambi

Nampala wa Babaka ba Forum for Democratic Change ow’ekiwayi ky’e Najjanankumbi Yusufu Nsibambi alagidde ababaka ba FDC okuddayo bakiike mu ntuula za Palamenti mu bwangu ddala, bave mukwekandagga nga bwebaalagirwa akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti.
Nsibambi ategeezezza nti ekibiina kyasoose kutuula ne kyekenneenya ensonga eno era nekisalawo Ababaka baakyo badde mu Palamenti bateeseze abantu bebakiikirira.
Nsibambi ayongeddeko nti ebintu bingi ebigenda okuyita nga binyigiriza abantu abaabalonda era naawa eky’okulabirako eky’embalirira y’Eggwanga ey’omwaka ogujja 2024/2025 egenda okuyisibwa nga n’olwekyo tebayinza kusigalira mabega nga tebawaddeeyo birowoozo byabwe olw’okuba bali mu kwekandagga.

Leave a Reply