Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Twamaze olunaku lumu mu lusirika lw’Ababaka ba Palamenti aba NUP. Twayogedde ku nsonga ez’enjawulo ezigasa eggwanga era netuddamu okukakasa nti tukyalwanyisa obwannakyemalira okusobola okununula eggwanga lyaffe. Nabakubiriza bekkaanye nnyo ensonga enkulu mu Ggwanga ezinatusobozesa okununula eggwanga lyaffe okuva mu nfuga embi kuba olwo buli kimu lwekinakola amakulu. Neebazizza ababaka bano olwokusigala nga bakolagana n’ababalonda era nensamba n’abakulembeze ba NUP abalala okukola batyo.”