Ababaka b’Oludda oluvuganya Gavumenti nga bakulembeddwamu akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba bakiriziganyizza okuleeta ekiteeso ekiggyamu Minisita w’obutebenkevu Maj. Gen. Jim Muhwezi obwesige nga bagamba nti alemeddwa okukomya okutulugunya abantu wamu n’okulaga abantu ababuzibwawo gyebali.
Ababaka b’oludda oluvuganya Gavumenti baagala kuggya mu Minisita Muhwezi obwesigwa
