Abamu ku babaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga beerayiridde okuwakanya ne ssekuwakanya yenna enteekateeka ya Gavumenti eyookusonyiwa amakampuni agamu emisolo naddala ag’abantu abagwira nga bino babireese mu bbago ly’etteeka eryomusolo ogwa Income Tax er’ennongoosereza ery’omwaka 2017.
Waliwo ekirowoozo ekireeteddwa Gavumenti eky’okusonyiwa amakampuni ag’abagwira omusolo omuli; Kampuni ya AYA, Kampuni za Aghakan, eza Madhvan ssaako n’endala nga 22 ezigenda okuweebwa ekisonyiwo ekyomusolo.
Okunaku lwajjo ababaka ba Palamemti abatuula ku kakiiko k’embalirira y’eggwanga baliko alipoota gyebaaleese ekwata ku nnongoosereza ey’ebbago lino, wabula ababaka abamu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagamba nti tekigwanira n’akamu okusonyiwa amakampuni gano emisolo gyegandibadde gawa ate nga gakozesa ebintu bya bannayuganda byebasaasaanyaako ensimbi zaabwe omuli enguudo, amazzi n’ebirala bingi naye ate go negatasasula misolo ate nga n’ensimbi zegakola wano gakukumba nkukumbe negatwala ewaboobwo abaakuno nebasigala nga beerya nkuta.
Bwabadde mu mboozi ey’akafubo ne Radio Simba, omubaka akiikirira essaza ly’e Bugweri mu Disitulikiti y’ Iganga , Abdu Katuntu agamba nti kibi okusonyiwa emisolo egy’engeri nga eno egifiiriza bannayuganda.