Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nalabula Ababaka abava mu Lango Sub-Region okukomya okuttatana ekifaananyi kya Gavumenti nga bategeeza nti ekisaawe kya Aki-Bua kyagibwa ku lukalala lw’ebisaawe ebigenda okukyaaza empaka za AFCON 2027, nategeeza nti ebikolwa nga bino byandireetera Uganda obuzibu wamu n’okwonoona ekifaaananyi kyayo mu kibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere ku lukalu lwa Afirika ekya Confederation of African Football (CAF).