Tusiime ne Makawa bakyuusibwe batandike okukolera ku Palamenti – Sipiika Among
22 — 10Ssaabasajja Kabaka alambudde ettaka ly’e Kaazi okulaba embeera gye lirimu n’ebikolebwako
22 — 10Ababaka ba Palamenti abava mu Buganda nga bakulembeddwamu Omubaka wa Kalungu West, Joseph Ssewungu baagala Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyettaka Sam Mayanja aggyibwemu obwesige olw’okuvvoola Ssaabasajja Kabaka.
Ababaka bano bagamba alinga gwebawendulira Buganda kubanga buli lwabeera mu nkuŋŋaana ze avvoola Ssaabasajja nebategeeza nti obujulizi obumuluma babulina.
Ensonga zino bazanjulidde Sipiika Annet Anita Among mu lutuula lwa Palamenti enkya yaleero.
Bya David Turyatemba