Ababaka Ssewanyana ne Ssegiriinya betaaga obujanjabi – Hon. Matias Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Enkya yaleero ŋŋenzeeko mu Kkomera e Kigo okukyalira ku Babaka banaffe Hon. Allan Ssewanyana Allan ne Hon. Muhammad Ssegiriinya nga bano babadde mu kkomera kumpi emyezi 5 kati.

Bano bagaaniddwa okweyimirirwa enfunda eziwerako ekitali mu mateeka. Twogedde bingi nabo ku mbeera eriwo kati. Nkakasa nti embeera y’obulamu bwabwe yetaaga okutunulamu amangu ddala okulaba nti bafuna obujanjabi obutuukiridde okulaba nti obulamu bwabwe budda mu nteeko.

Wadde bavunaanibwa, okumma omusibe obujanjabi kiba kulinyirira ddembe lye ery’obulamu. Tukiriziganyiza ne Bannamateeka baabwe ku kiki kyetulina okukola okulaba nti bafuna obujanjabi nga Bannansi era abakulembeze. Basiimye nnyo obukulembeze bwa NUP olwokukola kyonna ekisoboka okulwanirira eddembe lyabwe. Bajja kuvaayo mu kkomera mu nkola ennuŋŋamo SO SSI ku biragiro biteereddwawo ate abo ababakwata.

Bansabye ntegeeze abantu baabwe bebakiikirira okusigala nga bagumu era bagenda mu maaso n’okubalwanirira bateebwe. Bansabye okubategeeza tebagezangako yadde okuva ku mulamwa ogwokubalwanirira n’ensonga zammwe nga ababalonda. Bajja kuvaayo nga bamaanyi era nga bagumu n’okusingawo okulwanirira ekyo ekyabalondesa.”

Leave a Reply