ABABAKA SSEWANYANA NE SSEGIRIINYA GYABABASINDISE KU ALIMANDA TEBALIIYO – MUNNAMATEEKA ERIAS LUKWAGO

Bannamateeka b’Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP okuli; Hon. Ssegiriinya Muhammad ne Hon. Allan Ssewanyana nga bakulemberwa Ssaalongo Erias Lukwago baagala ekitongole ky’amakomera ekya Uganda Prisons Service -UPS kiveeyo kibannyonyole lwaki baavudde ku kiragiro ky’Omulamuzi wa Kkooti ey’e Masaka bweyalagidde abantu baabwe okutwalibwa mu kkomera ly’e Kitalya gye baba babeera ku alimanda ate bbo nebasalawo okubatwala e Kigo.
Bannamateeka baabwe bagamba nti babadde balina okukola ku mpapula zebalina okutwala mu Kkooti Enkulu basabe abantu baabwe okweyimirirwa nga era balina okuzibatwalira basseeko emikono nti wabula kibabuuseeko bwebabadde mu lugendo olwolekera Kitalya nababategeeza nti eno abasibe tebanatwalibwayo.
Leave a Reply