Eyaliko Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kasese Hon. Winnie Kiiza asibiridde Ababaka abakyala Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP entanda; “Mufuneeyo akadde akamala nga kano kammwe ne Famire zammwe. Kyewetaaga mu kulonda okuddako g’emaka agali awamu kuba abakuvuganya baagala okulaba nga obufumbo bwo bufa olwo bakozese ekyo mu kunoonya akalulu. Nakikozesa era nekinkolera.
Mufuneeyo akadde k’abantu abo bemwanoonya nabo akalulu.”
Muky. Babra Itungo Kyagulanyi aka Barbie Kyagulanyi ye yewuunyizza lwaki Ababaka abamu Bannakibiina kya NUP tebalabika ku Social Media. “Social media tebayamba kulabwa kyokka oba okwoleka biki byemukola, nedda, emikutu gino gibayamba okutuuka ku balonzi bammwe n’okulondoola endowooza zaabwe wamu n’ebizibu byabwe.”