Ababbi balumbye omwalo gw’e Buberenga oguli mu ggombolola y’e Katabi mu Disitulikiti y’e Wakiso nebatta omuntu omu ate nebalumya n’abalala abawerako.
Police egamba nti ababbi gwebasse ye Jjuuko myaka 30 nga abadde mulunnyanja ku mwalo guno Bwerenga
Aduumira Police e Ntebe Godfrey Ninsiima ategeezezza nti tebannamanya kiviiriddeko babbi bano kulumba mwalo nga batandise okunoonyereza wabula gwo omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro okwekebejjebwa.