Police e Nansana ennyuludde omulambo gw’omusajja atannategeerekeka mannya ge eyagudde mu mwala gwa Lubigi enkya ya leero .
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omusajja ono yalabiddwako ku makya ennyo nga akunngaanya obucupa wabula n’asimattuka n’agwa mu mwala guno okuliraana essunsuliro lya Kazambi ku luguudo lwa Northern by pass .
Oluvannyuma lw’okugunnyulula, Police egututte e Mulago basobole okugwekebejja nga bwebalinda bannanyinigwo okugunona .