Waliwo omusajja atemera mu gy’obukulu 30 e Iganga agudde mu kaabuyonjo n’afiiramu bwabadde annyulula essimu nga nannyini yo emuguddeko bwabadde yeetaawuluza.
Kigambibwa nti nannyini ssimu eno Beyongera Paul abadde ataddewo omutwalo mulamba eri eyo asobola okugimujjirayo era wano Cuma Waguleka ow’emyaka 0
30 weyeesowoleddeyo agwewangulire wabula tasobodde kusimattuka magombe nga agiggyayo.
Bino bibadde ku kyalo Muyira mu gombolola y’e Nambale ekiri mu Disitulikiti y’e Iganga.