Poliisi y’e Nansana nga eri wamu n’abakambwe aba Flying Squad bakutte omusajja abadde asobya ku bakazi n’oluvannyuma n’abatta.
Ekikwekweto mwekwatidde omusajja ono kitutte essaawa kkumi era nga Police yakitandise matumbi budde okutuusizza ddala emisana nga bakyataganjula n’okufuuza omuzigo mw’abadde asula.
Obunkenke bubadde bwamaanyi ng’ omutemu ono akwatibwa, Poliisi ekozesezza embwa zaayo nga ne namunkanga zaayo ziri ku bwerinde gattako obumotoka bwa bbaasi obutera okutambuzibwamu abantu ab’omutawaana.
Oluvannyuma lwa Poliisi okuvumbagira omusajja ono, emufulumizza nga yenna emubisse ekinyiizizza abatuuze nga bagamba nti yandibadde ebaleka nebamukubako eriiso naye wakati mu kwecwacwana, bagambye nti omusajja ono bamumanyi nti era abadde waamutawaana nnyo.