Abadde akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba Munnakibiina kya National Unity Platform olunaku olwaleero awaddeyo offiisi mu butongole nasibirira entanda amudidde mu bigeye Hon. Joel Ssenyonyi; “Olwaleero mpaddeyo offiisi ya LOP mu Palamenti mu butongole. Nebaza abantu bomu Nyendo-Mukungwe Division abanesiga okubakiikirira ekyasobozesa ekibiina kyange ekya NUP okulaba obusoobozi bwange nensobola okuweereza nga LOP okumala emyaka 2 n’ekitundu. Nsiima olwokunsobozesa okuweereza Eggwanga lino eddungi. Netondera oyo gwenyinza okuba nga nanyiiza mu nkola lange eyemirimu naye mbadde nkola ekyo ekirungi eri Eggwanga lyange. Nsaba Palamenti okuwa anziridde mu bigere Hon. Ssenyonyi obuwagizi bwonna bweyetaaga okusobola okuweereza.
Hon. Ssenyonyi muto wabula mugezi era yetaaga obuwagizi bwaffe tusobole okugenda mu maaso n’omulimu gwe twatandika nga NUP – ekibiina ekito, n’ab’oludda oluvuganya okutwaliza awamu mu kaweefube waffe okulaba tubangawo enkya ennungi eri abaana baffe n’abazzukulu olwo ebyafaayo biriwandiikibwa, “Baasisinkana mu Lukiiko lw’Eggwanga, baali ba njawulo, baalina endowooza ya njawulo naye ne bakuŋŋaanira wamu olw’ensoga eyomuzinzi.”
Eri muto wange kati Omukulembeze, ngenda kumusibirira ekitabo, “How to hug a Porcupine” ekivuunulwa nti; ‘Engeri gyogwa mu kifuba kya nnamunnungu.’ ekyateerezebwa Dr. Debbie Ellis. Nnamunungu ntegeeza abantu abo abazibu naye nga ate kitundu ku bulamu bwaffe. Tosobola kukyuusa bantu bano kuba bazibu naye teekawo olukomera.
Wuliziganya bulungi nabalala osobole okutegeerwa. Tonyiigira muntu, weerabirire bulungi, essira lisse ku birungi era beera mugumiikiriza. Saba okuyambibwa. Jjukira nti toli wekka.”