Police mu disitulikiti y’e Butalejja etandise okunoonyereza ku ngeri abafumbo 2 gyebasangiddwa enkya ya leero nga nga zembuyaga ezikaza engoye bwebasangiddwa nga balengejjera ku muti mu kasolya k’enju yaabwe.
Enjega eno egudde ku kyalo ekimu ekisangibwa mu Ggomboloya y’e Mazimata ekiri mu Disitulikiti y’ e Butalejja nga abeetuze be ba Makota Hamuza myaka 28 ne mukyalawe Saanula Lusimbo myaka 22 , nga kigambibwa nti ekibaviiriddeko okwetuga kwekuba nti Hamuza yali yabba ente 2 ne bamukwata wabula nebamusonyiwa naye nga abadde asiiba mu nnyumba ne mukyalawe .
Wabula bano webeetugidde wasangiddwawo ebipapula ebigamba nti bo ababi baviiridde ensi eno , abalungi bagisigaleko .