Abafuzi b’amatwale bebaavaako enjawukana mu Rwanda ne Burundi – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti w’eggwanga lyattu Yuganda, Yoweri Kaguta Museveni akyazizza Ssaabawandiisi w’ekibiina ekitaba amawanga ag’obuva njuba ku lukalu lw’ Africa, Amb. Liberat Mfumukeko ,  mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe akawungeezi ka leero .

Mu kafubo kano, Amb. Liberat Mfumukeko ategeezezzaako Pulezidenti Museveni webatuuse mu kaweefube w’okutebenkeza emirembe mu ggwanga lya Burundi okwo gattako ne webatuuse mu kuyunga amawanga g’obuvanjuba okuba ekizinga kimu .

Wabula ye Pulezidenti Museveni ategeezezza mukulu munne nti obuzibu bwa Burundi buviira ddala ku bafuzi b’amatwale Ababirigi abaataataaganya amawanga gano Burundi ne Rwanda nga babakutulamu ebika eky’aba Tutsi n’aba Hutu.

Wano Museveni waasinzidde n’asaba abantu ba Burundi abalina obutakkanya beeyambise omukago guno okugonjoola enjawukana eziriwo  eggwanga lisobole  okutebenkera .

 

 

Leave a Reply