Akola
nga Dayirekita wa Kampala Ying. Andrew Kitaka asabye Minisita Chris
Baryomunsi, Gavumenti eyanguye entegeka y’okusazaamu ebyapa bye yagaba
mu bifo by’entobazzi kubanga bannannyinibyo bafuuse omuziziko mu
nkulaakulana.
Yaloopye nti waliwo abagagga babiri abaagula
olutobazzi lw’omwala gwa Nakivubo mu bitundu by’e Namuwongo naye
babalemesezza okutema oluguudo olupya olugatta Namuwongo ku Bugoloobi,
luwonye Bannakampala ku bulippagano.
Yategeezezza nti omulimu baali bagutandise
nga ne ssente bazirina kyokka tebamanyi bakungu mu kitongole ky’ettaka
abaawa abagagga bano ebyapa mu kifo ekirabikira ddala nti lutobazzi.
Bino bibadde mu nsisinkano ebaddewo n’abakungu okuva mu bitongole bya
Gavumenti ebikola ku ttaka mu Kampala omuli olukiiko lwa Kampala
District Land Board, abawandiisi mu ofiisi ezikola ku by’ettaka, omubaka
wa Pulezidenti mu Kampala, Faridah Mpiima Mayanja, omumyuka wa Loodi
meeya, Hajjat Sarah Kanyike, n’abamu ku bazze banyigirizibwa ku ttaka.
Kitaka yayanjudde nti ekiseera kino ebyapa ebiwera 19531 tebinnaba
kuyingizibwa mu kompyuta za Gavumenti kye yagambye nti kya bulabe
ekisobola okuvaako okukeereya emirimu gy’enkulaakulana ssaako okubba
ettaka ly’abantu nga balikolera ebyapa ebisukka mu kimu.
Ate omubaka
wa pulezidenti mu Kampala, Faridah Mayanja yategeezezza minisita nti
yeewuunya abakozi ba gavumenti abakola ebyapa ebisoba mu kimu ku poloti
oba ettaka, kyokka ne basigala mu ofiisi nga tebalina wadde
kyebakoleddwaako.
Minisita baamwanjulidde emivuyo egiri ku ttaka mu
Kampala omuli, omuntu okumugobera ekyapa emyaka egisoba mu etaano,
enguzi efuhhamye ku ttaka, babulooka abayitiridde mu ofiisi z’eby’ettaka
abavaako okulinnyisa ebisale by’okufuna ebbaluwa yonna mu ofiisi
z’ebyettaka ssaako abakozi ba Gavumenti (Registrar) abalina obuyinza ku
fayiro obusinga n’obwaminisita.
Minisita Baryomunsi yategeezezza nti
bagenda kusazaamu ebyapa byonna mu ntobazzi kubanga olukiiko
lw’abaminisita lwayisa dda n’ekirango ne kifuluma.
Yagambye nti buli kyapa baagala kiyingizibwe mu kompyuta okwewala okukola ebyapa ebisoba mu kimu.
Yategeezezza nti bagenda kulondoola abakozi ba gavumenti (Registrar)
abalina obuyinza obwenkomeredde n’abakyusibwa ne bagaanira mu Kampala.
Yamenye ofiisi 13 okuli; eya Kampala, Wakiso, Mukono, Jinja, Masaka, Mbarara, Kabalole, Arua, Masindi, Mbale.
N’agamba nti ate bagenda kuggulawo endala mukaaga okuli; Mpigi,
Luweero, Mityana, Rukungiri, Tororo, moroto ne Soroti okuyambako
okwanguyiza abantu okugoba ku ttaka lyabwe.
Kyokka omu ku bakozi ba
Gavumenti akulira zooni ya Kampala, Johnson Bigiira yategeezezza nti
abamu ku abagobwa ettaka tebatuukiriza bisaanyizo ate ne batayagala
kwebuuza ekibaleetera okulowooza nti abakozi ba gavumenti be bazibu.
Yategeezezza nti tewali alya nguzi era ofiisi zaabwe baazikola nga bonna batuula wamu.