Abagambibwa okubulankanya obukadde 33 e Alebtong bakwatiddwa

Akakiiko okuva mu Maka g’omukulembeze w’eggwanga akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda katutte abakozi ba Disitulikiti y’e Alebtong mu Kkooti evunaana abali b’enguzi nebavunaanibwa emisango okuli okukozesa obubi offiisi zaabwe. Bano kuliko; Aula James-former Principal Assistant Secretary, Ojom Alex-District Internal Auditor, Okello Dellion-Assistant Records officer nga kigambibwa nti mu mwaka gwa 2018 basasula obukadde 33,840,000/= eri Kingscourt Engineering Works Ltd gyebagamba nti yali asimye nayikkonto, okuwaayo obutimba bw’ebyenyanja (fish cages), obwenyanja obuto, emmere yabyo wamu nokubiteekayo wabula nga tebaweebwa kkontulakita nga nebintu byebabasasulira tebabikola. Bano bayimiriziddwa obutaddamu kuweebwa mulimu gwa Gavumenti gwonna.

Leave a Reply