Omulamuzi w’eddala erisooka owa Kkooti ya Buganda Road Asuman Muhumuza ettuntu lyaleero asindise abantu 15 abagambibwa okuba nga bebakola, nebatega wamu n’okutegulula bbomu mu Kampala, Wakiso ne Mpigi ku alimanda mu kkomera e Luzira, Kitalya ne Kigo ku misango egyekuusa ku butujju wamu nokukolera ekibiina kyabayekera ekya ADF.
Bano kuliko abakazi 5 n’abasajja 10.
DPP Jane Frances Abodo yakirizza bano bavunaanibwe emisango 6 nga bagizza wakati wa 2017 ne 2021 nga tebafuddeyo ku bulamu bw’abantu era mubugenderevu okutta abantu wamu n’okubalumya ekyaviirako okufiirwa okutagambika.
DPP agamba nti abakyala bano 5 bakuuma wamu n’okutuusa ku basajja ssente mu bumenyi bw’amateeka nga bakimanyi bulungi nti ensimbi zino zaali zigenda kukozesebwa mu bikolwa ebyobutujju.
Wabula bano tebakiriziddwa kubaako kyeboogera ku misango gyonna ku gya naggomola nga givunaanibwa Kkooti. Omulamuzi asazeewo abasajja batwalibwe mu kkomera e Kitalya, abakyala 4 basindikiddwa e Kigo ate omukyala omu asulirira okuzaala nasindikibwa e Luzira afune n’obujanjabu.
Bano bakudda mu kkooti nga 13-January-2022.