Abasaabaze nga babadde basaabalira mu bidduka eby’enjawulo okuva e Masaka okudda e Kampala nga kigambibwa nti bano babadde bagenda ku mpaka z’akamalirizo ez’emipiira gy’amasaza ga Buganda eziri e Namboole, bakyankalannyiza enteekaateeka z’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo ez’okukwasisa amateeka neboonoona n’ebimu ku bintu ebikozesebwa omuli ebyuma eby’amaggwa.
Bino bibaddde Kampiringisa ekisangibwa mu Gombolola y’e Buwama mu Disitulikiti y’e Mpigi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka .
Ekitongole kino nga kiri wamu ne Police y’ebudduka bibadde ku kaweefube wa kulondoola n’okukwata abo abagoba b’ebidduka eby’enjawulo abatikka obubindo, abavuga endiima n’abatalina bisaanyizo mukampeyini yaabwe eyakaziddwako erya FIKA SALAMA .