Abagenda okukuuma n’okulondoola ebigezo by’abayizi abagenda okutuula eky’omusanvu nga 03 ne 04, Museenene 2016 balabuddwa nti singa omuyizi yenna asangibwa mu kikolwa kyonna ekimuggya ku mulamwa baakubitebya .
Okulabula kuno kukoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya – Uganda National Examinations Board – UNEB , mu nsisinkano n’abamu ku abo abagenda okukuuma wamu n’okulondoola ebibuuzo bino ebadde ku ssomero lya Wakiso Classic Primary School erisangibwa e Kayunga mu Wakiso.
William Mwanje omulambuzi w’amasomero era avunaanyizibwa ku by’emizannyo mu Disitulikiti y’e Wakiso, asinzidde wano n’asaba abakulira amasomero okukakasa nga tewali muyizi ataataaganyiziddwa yadde okugobwa ebisale by’essomero.
Ye akulira ebyenjigiriza mu Disitulikiti eno, Henry Lwanga Ssempijja naye asinzidde ku bino n’alabula abalondeddwa okukuuma obulungi ebigezo kubanga ensobi yonna ekolebwa esobola okuvaamu okuggyibwa ku mulimu oba okutwalibwa mu nkomyo.