Abagoba b’ebidduka abavugira ku luguudo lw’e Masaka kati basazeewo kuddukira mu bukubo obusaliikiriza obwakazibwako erya Ppanya nga bagezaako okwebalama ekikweto Fika Salaama.
Ekwekweto kino Fika Salaama nga kati kiri mu mwezi gwakubiri , kiwomeddwamu omutwe Police y’ebidduka , ekitongole ky’ebyenguudo ( UNRA) wamu ne Minisitule evunaanyizibwa ku byentambula, nga bali mu kaweefube w’okukendeeza ku bubenje obubadde bukudde ejjembe ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka .
Kinajjukirwa nti ekikwekweto kino wekyatandikira mu mwezi gwa Muwakanya nga abantu abali mu kikumi (100) baluguzeemu obulamu lwa bubenje obutatadde ku luguudo luno okuva omwaka guno lwegwatandika .Wabula nga kati wetwogerera , amakanda bagasimbye mu bifo bibiri; e Kaddugala ne Katonga.
Wabula webutuukidde kati nga abagoba b’ebidduka abasoba mu lukumi(1000) bagombeddwamu obwala lwa butaba na bisaanyizo wamu n’okutyoboola amateeka g’ebidduka.