Abatuuze booku kyalo Kilalamba ekisangibwa mu ggombolola y’ e Kakooge mu Disitulikiti y’ e Nakasongola bavumbagidde Pasita nebamukuba ku Police y’ Nakasongola lwakulemera abamu ku bagoberezi be .
Abatuuze batutegeezezza nti Pasita Abbey Tumwesigye owa Kkanisa ya Holy Church of Christ abadde aliko abamu ku bagoberezi be omuli n’omuwala owa S.4 beyagaana okudda ewaabwe era nga abasuza mu kasenge kamu abantu musavu, abasajja mukaaga,omuwala omu nga abagamba nti bwebaddayo ewaabwe baggya kufa .
Ssembooze Godfrey Ssaalongo nga ye Ssentebe w’ekyalo kino Kilalamba agamba nti Pasita ono bamufubutudde kubanga bakooye okubuzaabuza abantu .