“Bano betugulako ebintu ebweru twagala kubateekako akakalu, myaka kati ataano nga tubagulako emmotoka.
Gyokoma okugula emmotoka ya Okujapani gyokoma okufunira abaana baabwe emirimu eri ewaabwe, n’olwekyo tusazeewo wano mu Africa ey’obuvanjuba , Abajapani emmotoka baziyungire wano, zikke ebbeeyi ate tufune n’emirimu . Abaana bakaaba emirimu tugiwa b’ebweru.
Ogwaffe gwa kugula, tuli katale, ekyo tukigaanye”.
Obwo bwebumu ku bubaka bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni obw’emikolo gy’ameefuga ga Yuganda nga eweza emyaka 54 mu bwetwaze egyabadde e Luuka olunaku lweggulo.