Kati abakakwatibwa obulwadde bwa #COVID-19 mu Yuganda baweze 88 oluvannyuma lw’abantu abalala 3 okuzuulibwa nga babulina.
Babiri ku bano bavudde mu ba Ddereeva 1922 abagiddwako samples nga 1 Munnansi wa Kenya ate omulala wa Burundi era kati bali mukunoinyezebwa.
Omulala Munnayuganda wa myaka 22 okuva e Rakai nga yagingedde Yuganda okuva e Bukoba mu Tanzania nga akozesa panya. Ono mukaseera kano ali waka nebazzadde era nga entegeka zikolebwa okumuggyayo ne bazadde be batwalibwe mu Ddwaliro lya Masaka Regional Referral Hospital.