Waliwo ekiwayi kyabakirizza mu Disitulikiti y’e Kumi abagaanyi Archbishop Stephen Kazimba Mugalu okuyingira ekkanisa ya St. James Atutur. Obuzibu bwatandise Bishop Mike Esakan bweyategeezezza nti y’essaawa Essaza ly’e Kumi lyeddize ekkanisa eno ebadde yawambibwa ennumba. Kino kyanyizizza abakiririza mu kiwayi kya Reformed Anglican Church ababadde babagalidde amafumu n’amajambiya abatandise okuwerekereza musajja wa Katonda ebigambo nga Archbishop abatunuulidde wakati mu kwewuunya okungi. Wadde nga Poliisi yabiyingiddemu okukakkanya abantu bano Archbishop ayogereko gyebali naye beremye. Archbishop yakozesezza akakisa kano okusaba Gavumenti okuvaayo ebayambe okweddiza ebintu by’Ekkanisa ebyatwalibwa ekiwayi kino.
Dr. Kazimba yategeezezza nti okutwala ekkanisa eno ku lyanyi buba bubbi bwennyini, nayongerako nti buli muntu waddembe okugula ettaka erirye natandikako ekkanisa era nebasinza mu ngeri gyebaagala.