Wabaluseewo olutalo mu ttawuni e Kayunga wakati w’aAbakirizza okuva mu Kayunga Catholic Parish bwebagumbye ku ttaka eriwezaako yiika 2 nga bagamba nti lyabwe wadde nga Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka Sam Mayanja yavaayo nategeeza nti lino Kayunga Regional Referral Hospital.
Bano balemesezza abazimba okuva mu UPDF Engineering Brigade ababadde basima omusingi gwekikomera okugenda okugenda mu maaso n’okukola omulimu gwabwe. OC Kayunga Police Station, Douglas Kiwanuka azze bukubirire okukkakanya embeera n’okusobozesa abakozi okwamuka ekifo kino.