Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asoomoozezza abasajja abakuba abakazi ku mulembe guno era n'ategeeza nti baba basiru ate abatiitiizi okukamala.
Asinzidde Mityana ku mikolo gy'okukuza olunaku lw'esi yonna lw'abakyala egibumbujjidde ku ttendekero lya Busuubizi Core Primary Teachers' College mu Disitulikiti y'e Mityana nga y'abadde omugenyi omukulu.
Omukolo gwetabiddwako abakungu ba Gavumenti abalala bangi omuli Omukubririza w'olukiiko olukulu olw'eggwanga, Rebecca Alitwala Kadaga, Ssaabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda, ba Minisita n'abakungu balala bangi.
Omukolo guno gutambulidde ku mulamwa ogugamba nti " Empowerment of Rural Women and Girls ; Opportunities and Challenges