Abakuba abantu e Kawempe North twabakwata – Lt. Gen. Okiding

Lt. Gen. Samuel Okiding; “Kantwale omukisa guno okwetonda mu butongole eri Akakiiko kano. Tusaba kutusonyiwa, ebyaliwo twabiraba, zaali nsobi ezikolebwa mu bikwekweto era nsi nkola yaffe. Mu bantu 1000, mubaamu abo abatasobola kufuga busungu era nga singa babasosonkereza batuuka mu mbeera eyo wabula kyali tekitegeeza nti babayise mu ngeri eyo esusse. Twabiraba era netubaako kyetukolawo, abantu bakwatibwa era netuteekawo akakiiko akanoonyereza era wetwogerera bali mu kkomera nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso era tujja kubabonereza tewali gwetugenda kuttira ku liiso.”
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply