Abakubwa e Kawempe zaali nsobi ezikolebwa abantu abatafuga busungu – Lt. Gen. Okiding

Oluvannyuma lwakabanga nga abebyokwerinda begaana abakuuma ddembe abakuba abantu mu kalulu k’e Kawempe North nga nabamu babadde banenya Bannansi, Eggye lya UPDF livuddeyo neryetonda olwebikolobero abasirikale baalyo byebatuusa ku bantu b’e Kawempe North mu kalulu akakaggwa. Omumyuuka wa Chief of Defence Forces Lt. Gen. Samuel Okiding ategeezezza akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda wamu n’ensonga zomunda mu Ggwanga nti abasirikale bonna abasiwuuka empisa nebakuba abantu bakwatibwa era banoonyerezebwako era nategeeza nti obukambwe obwakolebwa babutwala ng’ensobi ezikolebwa mu bikwekweto abantu abatasobola kufuga busungu bwabwe oluvannyuma lwokubasosonkereza.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply