Olukiiko olufuzi olwa Municipaali y’e Mukono lusabye Gavumenti ng’eyita mu Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu esalemu Divizoni ezikola Municipaali eyo , kisobozese abakozi ba Gavumenti okutuusa obulungi empeereza yaabwe eri abantu bonna.
Bino abakulembeze babyogeredde mu lukiiko oluyitiddwa omubaka akiikirira Municipaali eyo mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Hon . Betty Nambooze , okusala amagezi ag’okukulaakulanya Municipaali eyo .
Omuabaka Nambooze agamba nti buli lukya omuwendo gw’abantu gweyongera obungi mu Municipaali eyo, nga kati eggombolola ezirimu zeetaaga kusalwamu , bafune n’abankozi abamala okutuuka obulungi ku bantu bonna .
Nambooze era asabye n’abakulembeze bokumitendera egya wansi , okussa ku bbali eby’ebibiina by’obufuzi ebibaawulamu , bateekewo enkola y’emirimu ennungamu egasiza awamu abantu bonna .