Abakulembeze b’abayizi bagaanye okuwaayo obuyinza lwa bbanja lya 60.000 – Kabale University

Abayizi ku ssentendekero w’e Kabaale abagenda okunnyuka egyobukulembeze bakyeremeya okuwaayo yafeesi zaabwe eri abo abagenda okubaddira mu bigere nga bagamba nti baliko ensako yaabwe eri wakati w’emitwalo 60.000 ne 90.000 gyababanja, so tebasobola kuwaayo buyinza.

Bano bakulembeddwamu John Bosco Muhwezi era nga yaabadde akulira abayizi mu ssettendekero e Kabale nebeerema okuwaayo obuyinza eri abakulembeze b’abayizi abaggya nga bakukirwa Christina Tina Barigye abaalina okulayizibwa ku lwomukaaga .

Abakulembeze bano baabadde balina okukayizibwa Kakensa Ezra Twesigomwe Mishambi owa Kabale University era nga ono ye mumyuka wa Chancellor avunaanyizibwa ku byenjigiriza ku ssettendekero ono.

Wabula okuvannyuma lw’abayizi bano okwerema okuwaayo yafeesi zaabwe, baategeezezza nga bwebabanja emitwalo esatu esatu nga zaali za lutuula lwabwe nga waliwo n’endala emitwalo esatu egya Airtime ow’okukozesa emirimu gyabwe , nazo tebaazikubako kimunye.

John Bosco Muhwezi ng’ono yaanaatera okuwaayo obuyinza naye nga alemeddeko, agamba nti obutabawa ssente zaabwe kuba kubayisaamu ga ngege.!

Leave a Reply