Abakulembeze b’ennono mu ggwanga lyattu Yuganda basabiddwa okwegatta ekitole okuvaayo n’eddoboozi limu okuteeka akazito ku Gavumenti esobole okuyimbula Omusinga w’ Obusinga bwa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere mu bwangu ddala awatali kakkwakkulizo konna.
Okusaba kuno kukoleddwa Omubaka mu Palamenti akulira oludda oluvuganya Gavumenti Winnie Kiiza nga okwogera abino asinzidde Jinja eri ekkomera Omumbere gyeyasindikiddwa ku alimanda ku misango gy’obutemu.
Omumbere yaleeteddwa mu maaso g’omulamuzi omukulu mu kkoti e Jinja , John Francis Kaggwa era n’aggulwako omusango gw’okutta Omupoliisi , Geofrey Kasimba eyattibwa mu Mugulansigo w’omwaka guno e Kasese.