Omubaka wa Palamenti akiikirira Essaza ly’e Bbaale Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon Charles Tebandeke asabye Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuvangayo bayambeko mukulondoola pulojekiti za Gavumenti zeeba ereese mu bitundu byabwe baleme ate kulindiriranga Bababka kuzirondoola. Hon. Tebandeke okwogera bino abadde alambuula omulimu gw’okulima oluguudo oluva e Kabaku-Bbaale okutuuka e Jiiira nga luno lw’e lugenda okuyunga ku lutindo oluli mukuzimbwa ku mugga Ssezibwa lugatte Disitulikiti y’e Kayunga ku y’e Nakasongola.