Oluvannyuma lw’abatuuze mu kabuga k’e Mbalala Mukono okusuulibwa ebibaluwa nga babaagalako ensimbi, waliwo olukiiko lw’ebyokwerinda olukubiddwa mu kitundu kyabwe era nga lubadde lwa bbugumu nnyo olutuusiza n’abakulu okwogera ebisongovu.
Abatuuze babadde balumiriza GISO w’e ggombolola y’e Nama, Muhammad Wamala okukweka ababbi olutatadde nga tayagala kubaatuukiriza.
Bino okubaawo kyaddiridde GISO ono Wamala okutegeeza nga ye bw’amanyi abaawandiise ebibaluwa bino nti naye taajja kubaatuukiriza olwo abatuuze kwe kutabuka.
Kino kiwalirizza Commissioner wa Police, Anatoli Muletelwa okutabukira abatuuze n’abategeza nga bw’atagenda kwogera bulungi kubanga tagenda kubakwana.
Ye Rdc wa Disitulikiti y’e Mukono Nasser Munulo , anenyezza nnyo abakulira eby’okwerinda mu kabuga k’e Mbarara okubeera n’effuga bbi nga kati batuuse n’okulemesa abantu okuwaayo obujulizi neyennyamira nti bandibadde bamaze okuzuula eyawandika ebibaluwa bino.