Abakulu mu Poliisi basisinkanye omukyala eyakuluddwa mu katambi

Director of Operations AIGP Mwesigwa Frank olunaku olwaleero asisinkanye mukyala Adrian Victoria eyalabiddwako mu katambi ngakululwa mu bitaba abasirikale ba Uganda Police Force wamu ne muwala we nga bano ensisinkano ebadde ku Regional headquarters e Mbarara.
Alagiddde bakole alipoota enzijuvu ku nsonga eno. Mu lukiiko luno mubaddemu ne Deputy Director of Human Rights & Legal Services SCP Dinah Kyasiimire wamu n’omwogezi wa Poliisi ACP Rusoke Kituuma.
Abasirikale abenyigidde mu kino kuliko:
1. ASP Andrew Betunga (mu yunifoomu)
2. Detective Constable Darious Aharizira
3. Detective Constable Hope Nsasirwe ne,
4. Detective Constable Loyce Kiboneka
Bano bakuumirwa ku Poliisi e Mbarara.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply