Abakungu 6 e Bukwo balemereddwa okulaga enguudo zebakola

Abakungu ba Disitulikiti y’e Bukwo batunudde ebikalu, abakungu okuva mu kitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi mu maka g’omukulembeze w’egggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda bwebabadde bababuuza babalage enguudo ezakolebwa essatu ezamalawo obuwumbi bw’ensimbi obubiri ngamatama ntengo.
Abakunga okuva mu SHAU nga bakulembeddwamu Senior Legal officer Peter Ndomugyenyi bamaze enaku 2 e Bukwo nga banoonyereza kukozesa obubi ensimbi y’omuwi w’omusolo. Enguudo zino esatu ezabuze abakungu bategeeza nti zaali mu gombolola ye Suam era nti zaali zakolebwa neziggwa.
Ndomugyenyi agamba nti bakuddayo mu Disitulikiti eno banoonyereza ne ku bintu ebirala ebyalina okukolebwa, ye RDC wa Bukwo Samuel Hashaka Mpimbaza agamba nti naye kyamuggya enviiri ku mutwe okusoma alipoota ngeraga nga enguudo zino bwezakolebwa so nga tebayisaamu wadde grader.
Julius Chelimo ssentebe wa Disitulikiti agamba nti abatuuze babadde bakyuukidde ye nga bagamba nti yabadde tafaayo kubasakira bintu bikulaakulanya kitundu kyabwe so nga ensimbi ziweerezebwa wabula neziriibwa abakozi ba Disitulikiti.
Wabula bbo abakungu abakwatibwa ku nsonga eno bayimbuddwa ku kakalu ka Poliisi nga balindirira okusimbibwa mu Kkooti babitebye. Bano kuliko; Franklin Kitiyo – District Production Officer, Chief Finance Officer – Andrew Bukose, David Aliwa akola nga Deputy Chief Administrative Officer, Catherine Cheptanui, Fred Sokuton Twalla – District Education Officer ne Limo Chelimo – Acting Town Clerk Suam Town Council.
Leave a Reply