Abakungubazi basattira, Omugenzi yalaama kumuziika mu fuuti 100 – Kamuli.

Abakungubazi e Namasagali mu disitulikiti ye Kamuli basattira wamu n’okuzikubamu amakiikakiika lwa mutuuze munnaabwe kulaama bamuziike mu ntaana ya fuuti 100. 

Nansololo ye yafudde mu Gombolola ye Namasagali mu disitulikiti ye Kamuli wabula abakungubazi bagenze okuggyayo ekiraamo nga ayagala kumuziika mu ntaana ya fuuti 100 nti abasezi baleme okumulya. Ekireetedde abakungubazi okutunula omukonga nga kino tebakirabangako wadde okukiwulira era bwebatyo nebongezaayo okuziika nga bibasobedde kubanga entaana entuufu eba ya fuuti 7.

Leave a Reply