Abakyala Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP abakwatibwa nga bekalakaasa ku lunaku lw’abakyala abasindikibwa ku alimanda gyebamaze enaku 12 bakomezeddwawo mu Kkooti olwaleero okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.
Omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti ya LDC, Martin Kirya abayimbudde ku kakalu ka Kkooti buli omu emitwalo 10 bano kuliko; Jacky Birungi, Flavia Ramto Apiyo, Milly Namatovu, Allen Nantume, Elizabeth Namagembe Nyanzi, Sylvia Namutyaba, Allen Nakiku, Phiona Nankya, Stella Kyeyune, ne Rukia Nabasi Sserunga