Abalamazi abawerera ddala 45 bagudde ku kabenje, bus ey’ekika kya Falcon nnamba T967 – BTA ebadde eva e Tanzania okudda e Namugongo bweremeredde omugoba waayo n’agikuba ekigwo ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kyotera.
Abantu 27 beebakoseddwa nga basinze kukosebwa ku mikono , mitwe n’ebifuba era nga bano baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka .
Okusinziira ku beerabiddeko n’agaabwe , bagamba nti Bus eno ebadde ka lusozi bbuleeki nezikutuka nga tekyasobola kumalako
Ye Dr. Charles Kajoba nga akola mu ddwaliro e Masaka agamba nti abafunye obuvune obw’amaanyi bali basatu nga n’abalala bafunye ebisago ebitali byamaayi ku bitundu by’omubiri eby’enjawulo era nga bakola ekisoboka bo nga abasawo okujjanjaba abantu bano basobole okweyongerayo mu lugendo lwabwe.