Abalamazi abasinze obuto ba myaka 13 bavudde Lira ku bigere

Nga twolekera okukuza olunaku lw’abajulizi e Namugongo era nga  lwa nkya, waliwo abawala babiri  abato okuva e Lira nga batambuzza bigere okutuuka ku  kiggwa ky’abajulizi e Namugongo okusaba katonda nga bayita mu bajulizi bano.

Abawala bano ababiri kuliko Gloria Ayao ne Flavia Ejang nga beebakyasinze obuto okuba nga batambula olugendo oluwanvu okuggya ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo okusaba.

Ayau ali mu kibiina kya musanvu ku ssomero lya Lira Police Pulayimale School ate ye Ejang ali mu kibiina kya mukaaga ku ssomero lya Awel Pulayimale School mu Disitulikiti ye Apac nga bonna ba myaka 13 era nga basuubira nti Katonda agenda kukyusa mu mbeera bazadde baabwe bafune ensimbi ezibaweerera . 

Leave a Reply