Abalamuzi abamu baleetawo okubuusabusa mu kutegeera- Abdul Katuntu

Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko k’amateeka batabukidde abakungu okuva mu ssiga eddamuzi nebabanenya okukwata obubi ensonga yokusaba okweyimirirwa era nga bano batuuse nekwebuuza oba nga abamu ku bakola mu ssiga lina bategeera bulung nga ddala betaaga okuweebwa ebitiibwa nga; ‘Worships, Lordship, Justices’ so nga byebakola byonna byoleka obutali bwenkanya okuli okwongezaayo okuwulira okusaba kwokweyimirirwa okumala wiiki 2 asabola okukola okusalawo kukusaba kuno. Ababaka nga bakulembeddwamu Abdu Katuntu (Bugweri County) ne Medard Ssegoona (Busiro East) bategeezezza nti kino ekikolebwa si kyabwenkanya.

Leave a Reply