Abalamuzi okuva mu Kkooti ejulirwamu okuli; Omulamuzi Catherine Bamugemereire, Deputy Chief Justice Richard Buteera ne Lady justice Eva K. Luswata bali ku Kkooti Enkulu e Masaka okuwulira okujulira okwabasingisibwa emusango wakati wa 2013 ne 2015. Bano bakuwulira okujulira ku misango 30 egyobutemu 14, egyobubbi 6, okusobya ku baana abatanetuuka 8, negwokukaka omukwano 1.