Abaliisa Poliisi enguzi nebasimuulamu ebipapula by’engasi bubakeeredde

Abagoba b’ebidduka abaliisa abasirikale ba Uganda Police Force enguzi nebasiimuula ebipapula byengasi ebyabaweebwa boolekedde okusasulira ebipapula ebyo emirundi ebiri oluvannyuma lwokunoonyereza okwakoleddwa munda mu Poliisi nebakizuula nti waliwo Abasirikale b’ebidduka byokunguudo abasiwuuka empisa nebabba obuwumbi 5 bwebakyankalanya enkola y’okusasulirako engasi ebeera eragiddwa omugoba okusasula eya penalty payment system.
Kigambibwa nti waliwo abasirikale ba Poliisi y’ebidduka abasimuula mu bumenyi bwamateeka emotoka ezaali zikubiddwa ebipapula okuva mu system, wabula Poliisi egamba nti zino zonna zakuzzibwamu.
Kigambibwa nti waliwo abasirikale abekobaana okuva mu kitongole kya Poliisi y’ebidduka wamu ne ICT nebenyigira mu bubbi buno nga kino bakikoledde emyaka egisoba mu 2 nga basimuula ebipapula okuva mu system ya Poliisi.
Kigambibwa nti abasirikale bano baali baweebwa olukusa olwawaggulu ekyabasobozesa okuyingira mu akawunti za EPS system okwetoloola eggwanga lyonna olwo nebatandika okusolooza ensimbi okuva ku bagoba b’emotoka naddala aba Takisi wamu ne Bbaasi okusobola okusimuula ebipapula by’engasi ebyabaweebwa.
Olunaku lw’eggulo, AG Director for Traffic and Road Safety, Senior Commissioner of Police Lawrence Nuwabiine, yakakasizza okunoonyereza kuno.
Leave a Reply