Abalimi mu Disitulikiti y’e Kayunga batubidde namakungula

Img 20200526 Wa0021

Abalimi b’ennyaanya, Green paper wamu n’emboga abegattira mu kibiina kyabwe ekya Namutya Small Scale Scheme nga bano basangibwa ku kyalo Namutya mu Ggombolola y’e Busaana mu Disitulikiti y’e Kayunga gebakaaba gebakomba oluvannyuma lw’ebirime byaabwe bye bakungudde mubungi okubulwa akatale.
Abalimi bano abasoba mu bisatu (300) nga balimira kubugazi bw’ettaka obuweza acre 16 bagamba amaanyi gaabwe n’ebiseera byebatadde mukulima ebirime gabafudde togge. Kino abalimi bano bakitadde ku Gavumenti awamu na bobuyinza mu Disitulikiti eno abasalawo okuziiyiza Bannakenya okubatuukako mu bitundu byabwe bino nga ate bebaali babagulako ku bbeeyi eyawaguluko.
📸 Kato Vincent

Leave a Reply