Omubaka akiikirira Kilak North Anthony Akol avuddeyo neyewuunya engeri Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform akiikirira Mityana Minicipality Zaake Butebi gyeyatuuseemu okuweebwa ekitanda mu Ddwaliro e Nsambya ngagamba nti oluvannyuma lwakavuvuŋŋano akaliiwo mu Palamenti. Akol agamba nti yaleka Zaake ayimiridde era nga abuukabuuka wabula alowooza nti wandiba nga waliwo abantu abakozesa akakisa ako nebatuusa ku Zaake obulabe.
Bino Akol abyogeredde mu Lukiiko lwa Bannamawulire mu Kampala mwalagidde obubaka bwagamba nti bw’abalonzi okuva e Mityana nga bamwebaza okukuba Zaake.
“Newuunya okulaba nti omusajja gwenalese ngayimiridde bwabuukabuuka okuba ngali ku kitanda mukaseera kano. Kuba bwolaba obulungi akatambi, oluvannyuma lwakavuvuŋŋano yasigala ayimiridde nga bwasabasamba, kati newuunya oba yakubwa bantu balala oba ali mu katemba okulaga nti ali bubi nnyo, sikitegeera. Omusajja yali yakambuwadde dda ngafunyizza ekikonde. Simanyi oba yali ayagala kukuba Sipiika, kuba ekikonde yali afunyizza kyaaki? Obusungu bweyabuggya eyo nabuleeta ku nze ekyenaku yabuleeta ku muntu omukyaamu.”