Abalonzi okuva mu gombolola ye Ivukula ekiri mu ssaza ly’ e Bukono ekisangibwa mu disitulikiti ye Namutumba bawandiikidde akakiiko ka Palamenti aka Parliaments Appointment’s Committee, nga kano kekavunaanyizibwa ku kukakasa abantu abalondeddwa Pulezidenti nga era kakulemberwa Sipiika Rebecca Kadaga nga bakakasa obutaksakasa mubaka waabwe Persis Namuganza kubwa Minisita omubeezi ow’ebyettaka .
Mu kiwandiiko kyebakwanze Kadaga nga kiriko emikono gya bantu 500 abalonzi , bagamba nti Namuganza empapula z’obuyigirze yagingirira ngingirire .
Bano ekiwandiiko bakyetwalidde bennyini ku Palamenti nga bakulembeddwamu Joseph Kirunda omu ku baanonyeza Namuganza akalulu .
Kirunda ne banne bwetubabuuzizza oba nga tebali mu kukozesebwa bagambye nti bakikoze ku lwabwe .
Namuganza nga tannayingira mu byabufuzi yali mumyuka wa RDC e Luwero .