Omudduumizi wa Uganda Police Force mu Ggwanga IGP Martins Okoth Ochola avuddeyo nategeza nti kyandiba nga abatamanyangamba abalumbye Abaserikale ba Poliisi y’ebidduka ababadde ku Load Block mu Luweero baabadde baagala kufuna mmundu zakukozesa mu bubbi.
IGP agamba okwogera kino asinzidde kukuba nti Abaserikale abatuusiddwako obulabe beebo abaabadde ne mmundu so nga banaabwe abatabadde nazo tewali kyebabakozeeko. Obulumbaganyi buno bw’abaddewo lunaku lwaggulo nga mwafiiriddemu omuserikale omu omulala n’abuukawo n’ebisago eby’amaanyi.