Abatuuze mu bitundu by'e Sseeta Nazigo n'emiriraano mu Disitulikiti y'e Kayunga bakukkulumira Gavumenti olw'okulemererwa okussa eddagala mu ddwaliro ly'e Sseeta Nazigo Health Centre III ate nebabawaamu bokisi z'obupiira bu kalimpitawa .
Abantu bano bagamba nti balaba nga batikkula amabookisi ku ddwaliro nga balowooza nti ddagala, naye bwebagenda okufuna obujjanjabi ku ndwadde ezitali zimu, babawa bokisi za bupiira nga beetangire obulwadde.
Bano bongerako nti eddwaliro teririna bintu bikozesebwa omuli Ggilavuzi, ebyuma ebikebera n'ebintu ebirala nga mw'otwalidde n'ebyo ebijjanjaba abalwadde ba Ssukaali ne Puleesa .